Mu bulamu bwaffe obw’omubiri n’obw’omwoyo, bulijjo wabaawo ebigezo bingi n’ebiziyiza. Mu biseera eby’edda, Abaisiraeri bwe baafuna ebigezo ebinene—eddungu awatali mazzi na mmere n’ensi ya Kanani eyalimu abanene, Yoswa ne Kalebu essuubi lyabwe baalissa mu Katonda yekka. Okufaananako nabo, twetaaga okukkiriza okulaba oluggi lw’essuubi Katonda lwe yatuggulira mu bizibu.
Nga bwe yayita mu kuzuukira kwa Yesu n’okulinnya mu ggulu, Katonda yaggulawo oluggi lw’essuubi eri obwakabaka obw’omu ggulu eri abatukuvu b’Ekkanisa eyasooka abaggwaamu essuubi ku kukomererwa Kwe, era nga Yesu bwe yalaga Peetero eyalobye ekiro kyonna ekyamagero ekiva mu kugondera ekigambo Kye, ne leero, ebigambo bya Kristo Ahnsahnghong nti, “Enjiri eribuulirwa mu nsi yonna,” ddala birituukirizibwa.
“Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N’ekigera eky’ennaku zange bwe kiri; Ntegeere bwe ndi omumenyefu.” Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi. Zabbuli 39:4–7
“[N]aye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa. N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” Matayo 24:13–14
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy