Bwe tutunuulira ekitangaala, ekisiikirize kirabikira emabega waffe, naye bwe tukyusa omugongo ggwaffe eri ekitangaala, ekisiikirize kiziyizza ekkubo lyaffe.
Mu ngeri y’emu, abantu bwe bagenda eri Katonda nga ye kitangaala, ekizikiza tekiyinza kubaziyiza.
Okufaananako Yeremiya mu mulembe gwa Kitaffe n’abatume mu mulembe g'omwana, bwe twakisa ekitangaala ky’ekitiibwa kya Katonda, tusobola okusisinkana okuyigganyizibwa n’ebizibu nga biitwetoolodde.
Kyokka, ku nkomerero, tujja kufuna emikisa mingi.
Isaaya, Yeremiya, ne Ezeekyeri bayakisa ekitangaala kya Katonda Yakuwa mu mulembe gwa Kitaffe, era Omutume Pawulo, Peetero, ne Yokaana bayakisa ekitangaala ky’ekitiibwa kya Yesu mu mulembe g'omwana.
Mu ngeri y’emu, mu mulembe ogw’Omwoyo Omutukuvu, ba memba b’Ekkanisa ya Katonda mu nsi 175 okwetoloola ensi yonna baakisa ekitangaala ky’ekitiibwa kya Kristo Ahnsahnghong ne Yerusaalemi Nnyaffe ow’omu Ggulu abajja ng’Abalokozi.
Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n'ekitiibwa kya MUKAMA kikuviiriddeyo.
Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
N'amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng'ovaayo.
Isaaya 60:1–3
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy