Ng’abantu bonna ku nsi eno bwe balina emirimu gyabwe era nga babeera n’obulamu bwabwe, n’abaana ba Katonda abazaalibwa mu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu mu kiseera ky’omulimu gwa Katonda ogw’okununula baweebwa omulimu gw’abaweereza b’endagaano empya, abavubi b’abantu, abakuumi , n’abajulirwa ba Katonda.
Katonda akwasa abantu be yeesiga era b’atwala ng’abatuukirivu omulimu ogw’enjawulo.
Kwe kuwa obujulizi ku Katonda azze ku nsi mu mubiri nga omutume Pawulo bwe yakola.
Ng’abajulizi ba Katonda, ba memba b'Ekkanisa ya Katonda bawa obujulizi n’omutima gwabwe gwonna ku Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama abajja ng’Abalokozi mu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu basobole okutambulira mu kkubo ly’okukkiriza awatali kwejjusa kwonna.
Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.
Ebikolwa 1:8
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy