Nga saluuni n’ejjiba bwe bisobola okudda
mu nsi yaabwe ne bwe biba
bigenda wala bitya, Katonda yagamba nti,
“Nja kuteeka etteeka lyange mu mitima
gyabwe,” era n’ateeka etteeka ly’endagaano
empya mu mitima gy’abantu basobole
okuddayo okutuuka mu maka gaabwe
ag’omu ggulu agataggwaawo.
Emyaka enkumi bbiri emabega, Yesu yasiga
ensigo ennungi [olunaku lwa Ssabbiiti n’Okuyitako]
okuwa abantu obwakabaka obw’omu ggulu.
Kyokka, ensigo ennungi oluvannyuma zaabula
ne zikyusibwamu masawi, kwe kugamba,
amateeka g’abantu agaasigibwa omulabe, sitaani.
Wadde nga kino kiri bwe kityo,
abaana ba Katonda tebeerabira ndagaano mpya
eyayolwa ku myoyo gyabwe wabula
bagitegeera n’omutima gwabwe, ne bajja
eri Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe,
ababalambika okutuuka mu bwakabaka obw’omu
ggulu, ensi y’emyoyo gyabwe.
Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama,
lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba
ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda: . . .
Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana
n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo,
bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange
mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu
mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga
Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange:
Yeremiya 31:31–33
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy