Tusobola okulaba amaanyi g’ekigambo kya Katonda Adamu ne Kaawa bwe baafa olw’okulya ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi; era omubi ku luuyi olwa ddyo yalokolebwa; era abazibe b’amaaso ababiri bawonyezebwa; era omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri n’ekikulukuto yawona; era okuyita mu nsonga nti buli alya ennyama ya Yesu n’okunywa omusaayi gwe nga yeetaba mu mu mugaati gw’okuyitako n’eviini ajja kufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.
Mu mulembe gw’omwana, Yesu yekka ye yawa amazzi ag’obulamu eri abo abajja gy’ali ku lunaku olusembayo era olusinga obukulu olw’embaga y’Eweema.
Mu mulembe gwa Mwoyo Mutuukirivu, abo abajja eri Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama, eyajja nga Omwoyo era Omugole, bajja kufuna amazzi agobulamu, ago Mwoyo Mutuukirivu. Bano be basobola okutuukiriza ebintu byonna olw’amaanyi g’ekigambo kya Katonda.
Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe. Ku kino yali ategeeza o4mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza.
Yokaana 7:37–39
Era Omwoyo n'omugole boogera nti “Jjangu!”. Naye awulira ayogere nti “Jjangu!” Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.
Okubikkulirwa 22:17
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy