Ng’olugero bwe lugamba nti, “Mu ddungu, amazzi ga muwendo okusinga zzaabu, era eri endiga eyabula, omusumba wa muwendo okusinga kabaka,” ebyo ebibalibwa okuba eby’omuwendo ku nsi eno bya njawulo nnyo ku ebyo eby’omuwendo mu bwakabaka obw’omu ggulu. Obugagga, ekitiibwa, n’obuyinza abantu abangi mu nsi bye batwala ng’eby’omuwendo tebirina mugaso mu bwakabaka obw’omu ggulu. Eno y’ensonga lwaki abatukuvu b’Ekkanisa eyasooka baabeerangawo olw’obwakabaka obw’omu ggulu wadde nga baali mu kuyigganyizibwa.
Mu bwakabaka bwa Katonda, omulimu ogusinga obw’omuwendo kwe kuteeka ekigambo kya Katonda mu nkola. Abantu b’omu Ekkanisa ya Katonda banoonya n’emmeeme emu eyabula n’amazima g’endagaano empya, nga bakkiriza ekigambo kya Katonda nti bajja kufuga nga bakabaka mu bwakabaka obw’omu ggulu era bayake ng’emmunyeenye emirembe gyonna n’egyonna.
Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi. Abaebbulaniya 11:13
N’abo abalina amagezi balyakaayakana ng’okumasamasa okw’omu bbanga: n’abo abakyusa abangi eri obutuukirivu ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe. Danyeri 12:3
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy