Esawu ne Yuda Isukalyoti baafiirwa emikisa olw’ebigambo bye baayogeranga mu ngeri ey’obutafaayo, era omunyazi w’oludda olwa ddyo ne mikwano gya Danyeri abasatu baafuna emikisa mingi okuva eri Katonda olw’ebigambo bye baayogera n’okukkiriza.
Engeri nti ebigambo ebivudde mu kamwa kaffe bwe bitabula wabula bidda gye tuli ku lunaku lw’enkomerero, Katonda bulijjo atuyigiriza okulowooza emirundi mingi nga tetunnayogera n’okulwawo okunyiiga.
Singa tukitegeera nti twasuulibwa wansi okuva mu ggulu olw’okuba twayonoona, tetujja kuwulira nga tuli banyiivu eri ekintu kyonna. Wabula tusobola okubeera n’obulamu obw’omukisa nga twebaza era nga twogera ebirungi nga tugoberera enjigiriza za Katonda olw’ensonga nti tusobola okuba ne Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama abazze mu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu.
Ekyo mukimanyi, baganda bange abaagalwa. Naye buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala: kubanga obusungu bw’omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda. . . . Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. . . . oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.
Yakobo 1:19–25
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy