Mu kiseera kya Babilooni nga
Danyeri akyali mulamu, Katonda yalagula
ku bwakabaka obwali bugenda okusituka
mu biseera eby’omu maaso, gamba
nga Media-Persia, Buyonaani, ne Rooma.
Ate era, Katonda yawa obujulizi
nti Baibuli eri mu maaso ssaayansi.
Okuyita mu bintu bino, Katonda yayagala
abantu bakkirize era babeere n’essuubi eri
obwakabaka obw’eggulu obw’ekitiibwa mwe bagenda
okuyingira mu biseera eby’omu maaso.
Ebintu byonna byatuukirira okusinziira ku
bunnabbi bwa Baibuli —obulamu bwa
Kristo eyasooka, obunnabbi obukwata ku Kristo
Ahnsahnghong ajja omulundi ogw’okubiri ne Katonda Nnyaffe,
era n’obwetowaze bwa Isirayiri mu 1948.
Waliwo n’obunnabbi Katonda bwe yalekera abantu,
abali mu kabi olw’obutyabaga obw’enjawulo
n’obuzibu bw’embeera y’obudde. Katonda yagamba
nti abantu balina okuyingira mangu
Sayuuni, gye bayinza okuwonera obutyabaga.
[E]nsi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira:
naye eggulu erya kaakano n’ensi
olw’ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga
bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango
n’okuzikirira kw’abantu abatatya Katonda.
2 Peetero 3:6–7
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy