Okusinziira ku biki ebirimu, eccupa
etaliimu kintu kyonna esobola okufuuka
ekibya ky’ebimuli oba eccupa y’amazzi.
Nga abatume bwe baafuuka abakozi
b’endagaano empya oluvannyuma lw’okufuna Omwoyo
Omutukuvu ku lunaku lwa Pentekoote
emyaka 2,000 egiyise, naffe, tusobola
okufuuka abaana ba Katonda abatuukiridde nga
bwe tulina Omwoyo Omutukuvu munda mu ffe.
Emyaka enkumi bbiri emabega, nga
Yesu amaze okufa ku musaalaba,
abatume baali bakankana olw’okutya, naye
oluvannyuma lw’okufuna Omwoyo Omutukuvu ku
lunaku lwa Pentekoote, baawa obuvumu
nti Yesu ye Masiya.
Nga n’abatume bwe baakola, ba memba
b’Ekkanisa ya Katonda leero, nga bafunye
Omwoyo Omutukuvu ow’enkuba esembayo ku
lunaku lwa Pentekoote, bajulira n’obuvumu
nti Kristo Ahnsahnghong ne Katonda
Nnyaffe bazze okulokola abantu.
Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka,
bonna baali wamu mu kifo kimu.
Amangu ago okuwuuma ne kuba mu
ggulu ng'empewo ewuuma n'amaanyi, ne
kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. . . .
Bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu,
ne batanula okwogera ennimi endala,
nga Omwoyo bwe yabawa okuzoogera.
Ebikolwa 2:1–4
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy