Ekibi eky’okulya ku muti ogw’okumanya
ekirungi n’ekibi kiyisibwawo eri abantu okuva
ku Adamu ne Kaawa mu Lusuku Edeni.
Abantu okusobola okusumululwa okuva mu kibi,
beetaaga amazima g’omuti ogw'obulamu ogusobozesa abo
abagulyako okufuna obulamu obutaggwaawo.
Abo bokka abategedde okwewaayo era
n'okwagala kwa Kristo Ahnsahnghong ne
Maama ow’omu Ggulu, abaleese omuti
ogw'obulamu, ne bakuuma amazima gano
n’omutima gwonna, be basobola okusumululwa
okuva mu kibi ky’okufa.
Ekibi eky’okufa, ekyasikirwa okuva ku Adamu, kiteekwa
okuggyibwa mu bantu abaagala okulokolebwa
era bayingire mu bwakabaka obw’omu ggulu.
N’olwekyo, Kristo Ahnsahnghong yajja ku nsi
kuno omulundi ogw'okubiri n’aleeta Embaga
ey’Okuyitako ey’endagaano empya, amazima g’omuti
ogw'obulamu, okusonyiwa ebibi by’abantu bonna
n’okubawa obusika bw’obwakabaka obw’omu ggulu.
Na kuno kwe kusuubiza kwe
yastuubiza, obulamu obutaggwaawo.
1 Yokaana 2:25
Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala
mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa
Mwana wa muntu ne munywa omusaayi
gwe, temulina bulamu mu mmwe.
Alya omubiri gwange, era anywa
omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; . . .
Yokaana 6:53–54
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy