Abaisiraeri baali beerabide ekigambo kya Katonda ekyabawonya bwe baalumwa emisota egy’obutwa.
Mu kifo ky’ekyo, baasinza omusota ogw’ekikomo okumala emyaka egisukka mu 800, naye omusota ogw’ekikomo Keezeekiya yagumenya.
Mu ngeri y’emu, ekisinga obukulu kwe kuba nti omusaayi gwa Yesu Kristo ogw’omuwendo gwe gwokka ogusobola okulokola abantu.
N’olwekyo, tulina okukimanya nti bwe tunaateekawo omusalaba, nga kino kye kimu ku bikozesebwa mu kutta, tujja kukolimirwa.
Omusalaba, ogwaweebwa Roma okuva ku mulembe gwa Babulooni ey’edda, gwayingizibwa mu kkanisa nga mu mwaka gwa AD 431, oluvannyuma lwa Yesu okulinnya mu ggulu n’abatume bonna nga bavudewo.
Okusinziira ku njigiriza za Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe, abaagamba nti, “Temusinza bifaananyi,” Ekkanisa ya Katonda tesimba na kusinza musalaba oba ebifaananyi ebirala byonna.
Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, . . . tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga:
Okuva 20:4–5
Akolimirwe omuntu akola ekifaananyi ekyole oba ekibumbe, eky'omuzizo eri Mukama, omulimu gw'engalo z'omukozi, n'akisimba mu kyama. Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti Amiina.
Ekyamateeka 27:15
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy