Lwaki abantu babeera mu bulamu obumpi ate ku nkomerero ne bafa?
“Empeera y’ekibi kwe kufa.”
(Bar 6:23) .
Baibuli egamba nti ensonga lwaki tulina okufa eri lwakuba ebibi byaffe.
Singa ebibi byaffe ebisaanira okufa bisonyiyibwa, newankubadde emibiri gyaffe gisaanawo, emyoyo gyaffe gisobola okubeerawo emirembe gyonna.
Olwo, tuyinza tutya okufuna okusonyiyibwa ebibi?
“Yokaana (omubatiza) yajja, ng’abatiza mu kitundu ky’eddungu era ng’abuulira okubatizibwa okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi.
Ensi yonna eya Yuda n'abantu b'eYerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali ne babatizibwaye mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.
(Mak 1:4-5)
Yesu yayita mu kubatizibwa, ekkubo erituusa ku kusonyiyibwa ebibi, okututeerawo ekyokulabirako. (Mat 3:13) .
Okubatizibwa gwe mukolo omutukuvu mwe tuyinza okuyitira okufuna okusonyiyibwa ebibi ne tuddamu okuzaalibwa nga abaana ba Katonda. Bwe kiba bwekityo, olwo ddi lwe tusaanidde okubatizibwa?
Nga tutegeera Kristo, tusaanidde okubatizibwa ( Ebikolwa 16:13–15 ).
Abantu baabatizibwa ne mu kkubo (Ebikolwa 8:27–38 ) ne mu ssaawa ez’ekiro ( Ebikolwa 16:25–33 ).
Lwaki bajjajjaffe ab’okukkiriza babatizibwa amangu ddala nga bamaze okutegeera Kristo?
Kyava ku kuba nti baali bakkiririza mu kisuubizo kya Katonda nti emyoyo gyabwe giwangaala emirembe gyonna wadde ng’emibiri gyabwe gisaanawo singa bafuna okusonyiyibwa ebibi nga bayita mu kubatizibwa.
Eno y’ensonga lwaki okubatizibwa kukolebwa mu linnya ly’Omulokozi alina obuyinza okusonyiwa ebibi n’okuwa obulamu obutaggwaawo. (Mat 28:19)
Omanyi erinnya ly’Omulokozi―erinnya lya Kitaffe, ery'omwana, n’Ery’Omwoyo Omutukuvu?
Erinnya lya Kitaffe ye Yakuwa, era erinnya ly'omwana ye Yesu.
Olwo erinnya ly'Omwoyo Omutukuvu lye liriwa?
Abo ababatizibwa mu linnya lya Yakuwa, erya Yesu, n’erya Ahnsahnghong — erinnya eppya erya Yesu n’Omulokozi mu mulembe ogw’Omwoyo Omutukuvu — basobola okufuna okusonyiyibwaebibi n’obulamu obutaggwaawo (Kub 3:12).
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy