Omusumba mukulu nnyo okusinga kabaka eri
endiga ebuze , era amazzi ga muwendo
nnyo okusinga zaabu mu ddungu.
Omugaso gw’ebiragiro bya Katonda gujja kweyoleka
ng’abantu bayimiridde mu maaso g’entebe
ya Katonda ey’omusango.
Kino kiri bwe kityo kubanga eggulu
ne geyena bisalibwawo okusinziira ku oba
omuntu akutte ebiragiro bya Katonda oba nedda.
Olw’okuba obwakabaka obw’omu ggulu kifo aboonoonyi
we batasobola kuyingira, kyetaagisa nnyo
okufuna okusonyiyibwa okw’ebibi byabwe.
Katonda asuubizza okusonyiyibwa ebibi mu
musaayi gwa Kristo ogw’omuwendo okuyita
mu mbaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya.
N’olwekyo, okufaananako Dawudi, abantu balina
okuba n’okukkiriza mu kisuubizo kya
Katonda ne bagala ebiragiro bye.
Kyenvudde njagala ebyo bye walagira
Okusinga ezaabu, okusinga ezaabu ennungi.
Zabbuli 119:127
[M]umugambe nti Omuyigiriza agambye nti
Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo
gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.
Abayigirizwa ne bakola nga Yesu
bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako.
. . . Munywe ku kino mwenna; kubanga kino
gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika
ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi.
Matayo 26:18–28
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy