Abayigirizwa, abaalaba Yesu ng’alinnya okuva
ku lusozi lw’Emizeyituuni, baakiraba nti
awatali kwambala Mwoyo Mutukuvu wa Katonda,
enjiri tesobola kubuulirwa mu nsi yonna.
Bwe batyo, baasaba n’amaanyi okumala ennaku
kkumi okuva ku lunaku lw’okulinnya mu
ggulu okutuuka ku lunaku lwa Pentekoote,
nga basaba Omwoyo Omutukuvu ow’enkuba eyasooka.
Eriya bwe yawangula bannabbi ab’obulimba 850 ku
Lusozi Kalumeeri, okusaba kwakulemberwa obuwanguzi.
Yesu, Kristo Ahnsahnghong, ne Katonda Nnyaffe,
abajja ku nsi kuno olw’obulokozi bw’abantu,
baateekawo ekyokulabirako nga batandika omulimu gwabwe
ogw’enjiri n’okusaba okw’oku makya buli lunaku.
N’olwekyo, ba memba b’Ekkanisa ya Katonda,
nabo batandika olunaku lwabwe, nga bafuna
amaanyi ag’omwoyo nga bayita mu kusaba.
Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo:
Kubanga buli muntu yena asaba aweebwa;
n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo.
Matayo 7:7–8
Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna
byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize
nga mubiweereddwa, era mulibifuna.
Makko 11:24
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy